Chat with us Call us
Essiga lya Lutalo - Clan Information

Essiga lya Lutalo e Buyijja Mawokota

Okukuuma obuwangwa bwaffe n'ennono ku lw'abaliwo nabaliddawo.

Ebifa ku Ssiga lyaffe

ENSIBUKO Y'ESSIGA LINO

Abazukulu fenna tuva mu Jjaajja Kalyesubula eyali Lwomwa eyasooka. Lwomwa eyasooka ye yazaala Ndalu Masimbi eyazaala Sebambulidde Bbosa- Lutalo 1 (eyatandikawo e Ssiga lino).

Ebitiibwa bya Jjajja Bbosa Sebambulidde Lutalo

Bbosa Sebambulidde Lutalo yakulira wa Jjaajjawe Kalyesubula eyamwagala ennyo, era n'amuwaayo kwe kuweebwa ebitiibwa eby'emirundi ebiri:

  1. SSABAGANZI (Kojja wa Kabaka): Eyategeezanga Kabaka Namasole - Nalugwa (Maama wa Kabaka) by'eyayagalanga okutegeeza Mutabani we, mu biseera ebyo yali Ssekabaka Kimbugwe.
  2. LUTALO (Lyali linya patiike): Yali aleeta amawulire okuva mu Lutalo nga Buganda egaziya ensalo zaayo mu biseera ebyo. Ate nga yali Mulwanyi Namige.

Okutandikibwa kwe Ssiga lya Lutalo

Kigambibwa, nti olw'emirimu emirungi gy'eyakola, yaweebwa okutandikawo e Ssiga mu Kika kye Ndiga eryatumibwa LUTALO. Ssekabaka n'amulagira okuba embuga ye. Okuva olwo ne liyitibwa Essiga lya Lutalo nga e Mbuga eri Katabuulwa -Buyijja.

Lyatandikawo ku mulembe gwa Ssekabaka Kimbugwe (1634-1644). Enkiiko z'eSsiga lino zituula buli Lwamukaaga olusembayo mu mwezi.

Obukulembeze bw'essiga

Alikulira ye GGUBYA JAMES BENNETT SSERUNKUUMA SERWABWE ey'atuuzibwa nga 25.5.2024. Ono nga ye Lutalo owe 12. Katikkiro w'alyo ye KYOBE FRANCIS era nga ye Omwami we Gombolola Musaale Buwama - Mawokota.

Emituba gy'essiga lyaffe

BBOSA Sebambulidde Lutalo yazaala abaana abalenzi 15 era n'abawala 19. Abalenzi yabasimbira emituba era n'ebaba nga b'ebaatandikawo emituba egiri mu Ssiga lye. Wabula EMITUBA 2 kugyo gy'aweebwa baana ba Ndalu baganda ba Sebambulidde Bbosa Lutalo 1, okuli NAMALUSU ne SSENGOMA nga bano baafuna emituba okuva ku jjjajaawe Ndalu.

Essiga lino liyina emituba ejiwerera ddala 17 ne wankubadde nga ejimu tejinazuulwa. Ejitambula mulimu:

  • MPANDE E KABIRA
  • NAMALUSU E BULYANGA
  • KASOZI E MAZIBA
  • BBOSA E DDAMBWE
  • GUBYA E LUNYANGE
  • WAGABA E MAZIBA
  • SENGOMA E MAZIBA
  • LUGGYA E BUMBO
  • MULIGO E BONGOLE

Ababadde Balya Obwa Lutalo

  1. BBOSA LUTALO SEBAMBULIDDE ku Ssekabaka Kimbugwe (1634-1644)
  2. KASOZI LUTALO ku Ssekabaka Kyabaggu (1750-1780)
  3. SERUNKUUMA BYANSANSA LUTALO ku Ssekabaka Semakookiro (1797-1814)
  4. SEMULANGWA LUTALO ku Ssekabaka Suuna II (1832-1852)
  5. MAYANJA RUBAATO LUTALO ku Ssekabaka Ssekamaanya (1814-1832)
  6. BISWANKA LUTALO ku Ssekabaka Muteesa I (1856-1884)
  7. SSENGOMA LUTALO ku Ssekabaka Mawanda
  8. MIKAAYA BBOSA KIBUUKA LUKOOTO LUTALO ku Ssekabaka Mwanga II (1884-1897)
  9. DAUDI NDAGGA ZAAKE LUTALO ku Ssekabaka Daudi Chwa I (1897-1934)
  10. SYLVESTE KYOBE LUTALO ku 1934-2001 ku Bassekabaka, Daudi Chwa, Fredrick Walugembe Muteesa II ne Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II
  11. PAUL BBOSA KYALEMA LUTALO ku Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II (2001-2024)
  12. GGUBYA JAMES BENNETT SERUNKUUMA SERWABWE ku Kabaka Ronald Muwenda Mutebi Lutalo (2024-okutuuka kati)

Obukulembeze bw'essiga

Bano be bakulembeze abatwala essiga lyaffe. Bano basunsulibwa n'obwegendereza era ne bakakasibwa nti basaanidde olwobukugu, obumanyirivu, wamu n'ebisaanyizo ebirala ebyagobererwa.

BENNET GGUBYA SSERUNKUUMA SSERWABWE

BENNET GGUBYA SSERUNKUUMA SSERWABWE

Lutalo(XII)

Mpande e Kabira

0772408350

ENGINEER MU KUZIKIZA OMULIRO

KYOBE       FRANCIS

KYOBE FRANCIS

Katikkiro

Mpande e Kabira

0777547758

MWAMI WA KABAKA OWEGOMBOLOLA MUSAALE

KASAKYA ALOZIUS LUMU LUTALO

KASAKYA ALOZIUS LUMU LUTALO

Mukubiriza

Wabala e Busujju

0751725325

Mukugu mu kuzimba ebizimbe

NDAGGA FARROUK

NDAGGA FARROUK

Muwandiisi

Namalusu e Bulyanga

0755647009

LECTURER

JOHN BISWANKA

JOHN BISWANKA

Muwanika

Mpande e Kabira

0772543073

Mukugu mu kuzimba ebizimbe

NAKIBUUKA GRACE

NAKIBUUKA GRACE

Owebyenjigiriza

Muliggo e Bongole

0772667292

MUSAWO

NABBOSA HAFSWA

NABBOSA HAFSWA

Owebyobulamu

Mpande e Kabira

0753950811

MUSAWO

SSEBAMBULIDDE PATRICK

SSEBAMBULIDDE PATRICK

Owebyokwerinda

Kasozi e Maziba

0702403553

MUSIRIKALE

NALUNKUUMA PROSSY

NALUNKUUMA PROSSY

Owabavubuke n'ebyemizannyo

Ggubya e Lunnyange

0703901691

NABAKUNZI WEKIKA KYENDIGA

PAUL KIYINGI LUWOMBO

PAUL KIYINGI LUWOMBO

Omuwabuzi

Namalusu e Bulyanga

0758990989

KATIKKIRO OWOKUBIRI OWEKIKA KYENDIGA

NAMPALA JANE KABUUZA KYAMBADDE

MUBAKA WA LUTALO -USA

Mpande e Kabira

+845****341
NAKIYINGI ASSY

NAKIYINGI ASSY

Omubake wa LUTALO e German

Namalusu e Bulyanga

+491****2509

Mukugu mu kuzimba ebizimbe

KALEMBE DAMALIE

KALEMBE DAMALIE

MUBAKA WA LUTALO E NEW YORK

Mpande e Kabira

+150***8883
PROSCOVIA NALUNKUUMA

PROSCOVIA NALUNKUUMA

MUBAKA WA LUTALO -GERMANY

Mpande e Kabira

+49****08981

MUSAWO OMUTENDEKE

Obubaka obwenjawulo

Omukolo gwokutuuza Jjajja Lutalo (12) Bennet Ggubya Sserunkuuma Sserwabwe

Laba olutambi luno olabe omukolo gwokutuuza Jjajja Lutalo(12) Bennet Ggubya Sserunkuuma Ssarwabwe nga bwe gwali.

Ebyafaayo byekika Ky'endiga mu Bufunze.

Olutambi luno lunnyonnyola mu bufunze ebikwata ku Kika ky'endiga.

Omukolo gwokwanjula Lwomwa omuggya .

Laba olutambi luno nga Jjajja Lwomwa Omutaka Eria Lwasi Buzaabo ayanjulwa eri Katikkiro mu Bulange e Mengo .

Oluyimba lwe'kika Ky'endiga.

Olutambi luno lulaga omukolo gwokutongoza olutambi lw'ebyafaayo by'ekika ky'endiga. Oluyimba olulimu, lwe lw'ekika ky'endiga.

Omukolo gwokwebaza katonda ewa Jjajja Kasakya Lawrence.

Olutambi luno lulaga ebyaliwo nga Jjajja kasakya lawrence wamu ne bazzukulu ba lwomwa nga beebaza katonda ku lw'obulamu n'obuweereza bwa jjajja.

Omukolo gw'okusiima Jjajja Lwomwa Omubuze Daniel Kakeedo Bbosa.

Laba olutambi luno nga abakulu beebika byabuganda abenjawulo basiima Jjajja lwomwa omubuze.

Clan Event

Okuwaayo Amakula

Abakulembeze nga batikkula ebirabo ku mukolo gwokutuuza Jjajja Lutalo (12).

Clan Event

Enkiiko Z'abakulembeze

Abakulembeze b'essiga nga balya ekyemisana oluvannyuma lwolukiiko.

Clan Event

Emirimu Mu Ssiga

Jjajja Kasakya Lawrence Nga bwalabika kati.

Clan Event

Emikolo Gy'essiga.

Bazzukulu ba Lwomwa nga basanyuka wamu ne Jjajja Lutalo (12) Bennet Ggubya Sserunkuuma Sserwabwe.

Clan Event

Obuwangwa n'ennono

Ennyumba Sserunyonyilukooye nga bwerabika

Clan Event

Obulimi N'obulunzi mu Ssiga

Ekirime ky'emmwanyi ekyettunzi ennyo.

Amawulire agaliwo

Weekumire mu kumanya nga ogoberera ebyo ebigenda mu maaso mu ssiga lyaffe, okusinziira mu bitundu ebyenjawulo.

ENYAMBALA ENTINGOLE MU SSIGA LYA LUTALO

ENYAMBALA ENTINGOLE MU SSIGA LYA LUTALO

Abazukulu okuva mu ssiga lya Lutalo era mu omutuba GWA MULIGO nga banekanekanye mu kyambalo ekyenjaw...

Ebirala
WASWA SAMUEL NGAVA OKUBA OMUBALA

WASWA SAMUEL NGAVA OKUBA OMUBALA

AKULIRA OLUNYIRIRI LWA DAUDI NDAGGA ZAAKE NGAKUBA OMUBALA GWEKIKA NGA OLUKIIKO LWESSIGA LUGENDA KUTA...

Ebirala
OKWABYA OLUMBE LWA NAKATUDDE NAKAMYA E MITALA MARIA

OKWABYA OLUMBE LWA NAKATUDDE NAKAMYA E MITALA MARIA

NGA ENNAKU ZOMWEZI 14/9/2024, ESSIGA LYA LUTALO NGA LIKULEMBEDDWA OWESSIGA LUTALO LYAYABYA OLUMBE LW...

Ebirala
Amawulire gonna mu bujjuvu.

Ensibuko N'emirandira gye'ssiga lyaffe.

Wano osobola okulondoola obuvo n'obuddo bwo nga bwe buli, nga osinziira ku bajjajjaabo n'engeri gyebaazaalamu. Buli linnya lyamuntu lyonyigamu, olaba ebimukwatako omuli amannya ge, ebimukwatako mu bufunze, muzzadde we, wamu n'abaana be yazaala. Era ne ku baana be, osobola okulaba abaana baabwe, bwotyo okutuusa ebikwata ku muntu oyo ebimanyikiddwa lwe biggwayo.

JJAJJA KALYESUBULA
Ndalu Masimbi
Babirye
BBOSA LUTALO SSEBAMBULIDDE
Bulati
Katisa
Kihawo
Kirembe
Lwanyaga
Magatto
Nakamya
Nakato
Nakatudde
Nakibuuka
Nakiyingi
Nakyobe
Nalubaale
Naluggwa
Nalunga
Namalusu
Nambajjwe
Namiremba
Namitala Kuwokota
Nankusu
Niminamu
Nkonge
Nkusi
Ssebutemba
Ssegonja
Ssekabembe
Ssekannyo Masimbi
Ssekubunga
Ssempisi
Ssentumbwe
Sserunkuuma
Sserusa
Zaawedde
Ggubya
Kabuuza
Kanakyuma
Kasenge
Kasozi
Kiryewala
Luggya
Mpande
Muligo
Mwenyango
Ndagga
Ssaalongo
Ssengoma
Wabala
Bakyawa (Muwala)
Kiwalabye
Luggya
Nalulya (Muwala)
Ssejjuta Kamya
Ssembalirwa
Sserwabwe Ssengoma
Wasswa
Kidza (Muwala)
Danze Munana
Ggubya
Ggubya Sikisuleko
Kayaga (Muwala)
Kidza
Kiwanuka Zzimula
Lubaale Nkangi
Mukuutamannyo
Musisi Ssekidde
Musolo
Nakibuzi Gwoliza
Ssaalongo Mataali
Ssikyageza Kapere
Kikaaba
Sajjabbi
Lugya
Muyondo Lunyonyi
Nanziri (Muwala)
Bulya Banansanga (Muwala)
Kasozi
Kigula
Kisule Talika
Mawemuko Kuwatanya (Muwala)
Muyondo Byange
Namirembe
Nantume
Ntakula
Ssenundi
Gokyalya Musika (Muwala)
Kibuuka Magatto
Lwanga Tugalumbye
Musisi Kibukutu
Nabata Meme
Gwensanga (Muwala)
Kategano
Kyalaba (Muwala)
Mbuzi Namweru
Ssengantebuka Ssekalala
Wajakulaba Kangabaana
Aloki Kidza
Bbosa Kiswa
Gusite Musis
Kabuza Kakyamya (Muwala)
Nagadya (Muwala)
Nakimu (Muwala)
Nalunkuuma (Muwala)
Nanvewe (Muwala)
Nkanji Lwokya
Wansula (Muwala)
Yowaana Kibuuka
Nampa (Muwala)
Namusoke (Muwala)
Kaloli Wentirwa
Ssembalirwa Balabyettunzi
Kabuto Kyamukaddiya
Mwennyango
Nabitungo
Nakibuuka
Nalugwa
Kasule Nsibuka
Kayaga Lwagyawo (Muwala)
Lwagyawo Mukisa (Muwala)
Musoke Kinejjulira
Zekereya Ssaalongo
Buwatu (Muwala)
Kaggwa (Muwala)
Musoke Sibano
Muwanga
Namirembe (Muwala)
Bbosa
Julayina Nalugwa
Musoke
Nakibuuka
Nankya
Nanvewo
Esita Nakiyingi (Muwala)
Nekemeya Kabuza
Rebeka Naluggwa (Muwala)
Samali Nakatudde (Muwala)
Samuel Bbosa
Sserwano Kaggwa
Alikisi Lubaale
Balwiza Naima
Gutalina Ttama
Kajule
Sarah Kabatanya
Kalyesubula
Kiwanuka Mulisike
Nakibuuka (Muwala)
Namusoke (Muwala)
Ssengoma
Nabbosa
Kibuuka Kittakimanyidde
Nakimbugwe (Muwala)
SSebambulidde
Kasujja
Kasenge
Bakuza (Muwala)
Banyaga
Bemba
Beremba
Lukadde
Kamya (Muwala)
Lyawo
Mukasa Kiyega
Sserusa Nangibwa
Diriba
Kabejja (Muwala)
Kiryewala Kyakulagira
Kiwanuka
Nakibuuka Katinda (Muwala)
Nangoma Kitalikyo (Muwala)
Sserutemba Mulagattama
SSerwambwe
Antonio Sserunkuuma
Kaloli Kaggwa
Muwanga
Nakabaale
Nakayima
Nampa (Muwala)
Simewo Kiwanuka
Sirisita Nakimu (Muwala)
Yosefu Ssebambulidde
Kabejja (Muwala)
Nabbosa (Muwala)
Yowana Mukasa
Gadya (Muwala)
Nabikanso (Muwala)
Nakato (Muwala)
Wasswa Yowana Bbosa
Byanguye
Nakayima
Ssebyayi
Ssekyayi
Kabejja (Muwala)
Kalyesubula
Kuwatanya (Muwala)
Nabbosa (Muwala)
Naluggwa (Muwala)
Nalunyira (Muwala)
Ssebambulidde
Banyaga Kafumbirwango
Jjembe
Kiyingi Mabira
Nakibuuka
Nammambo
Nanyenje
Buwala
Kitunzi
Malia Mpakajja
Nakibuuka
Nalumu
Namirembe
Buliko (Muwala)
Erina Nabayego
Jjembe
Kiryewala
Kiyingi
Musoke
Nakibuuka (Muwala)
Namirembe
Sserunkuuma
Timosewo Kisuule

Abantu abogerwako mu mituba egyenjawulo mu kitabo Ky'essiga

Wano olaba omuwendo gw'abantu abawandiikidde mu buli mutuba nga bwekirambikibwa mu kitabo kyessiga lyaffe ekirimu ebyafaayo.

Omuwendo gw'abantu abawandiikidde mu buli mutuba

1
ggubya
70
ssengoma
515
kasozi
2
luyimba
43
sserulya
284
mpande
62
kiryewala
359
luggya
6
wabala
2
kasenge
294
muliggo
92
namalusu
150
ssegonja
1
kanakyuma
1
kisomba
1
wagaba
1
ssematembo

Famile eziri mu Ssiga lyaffe mu Mituba egyenjawulo

Select a Family

Click on a family name to view its members and details