Eyategeezanga Kabaka Namasole - Nalugwa (Maama wa Kabaka) by'eyayagalanga okutegeeza Mutabani we, mu biseera ebyo yali Ssekabaka Kimbugwe.
Essiga lya Lutalo e Buyijja Mawokota · Ekika ky'Endiga
Abazukulu fenna tuva mu Jjaajja Kalyesubula eyali Lwomwa eyasooka. Lwomwa eyasooka ye yazaala Ndalu Masimbi eyazaala Sebambulidde Bbosa- Lutalo 1 (eyatandikawo e Ssiga lino).
Bbosa Sebambulidde Lutalo yakulira wa Jjaajjawe Kalyesubula eyamwagala ennyo, era n'amuwaayo kwe kuweebwa ebitiibwa eby'emirundi ebiri:
Eyategeezanga Kabaka Namasole - Nalugwa (Maama wa Kabaka) by'eyayagalanga okutegeeza Mutabani we, mu biseera ebyo yali Ssekabaka Kimbugwe.
Yali aleeta amawulire okuva mu Lutalo nga Buganda egaziya ensalo zaayo mu biseera ebyo. Ate nga yali Mulwanyi Namige.
Kigambibwa, nti olw'emirimu emirungi gy'eyakola, yaweebwa okutandikawo e Ssiga mu Kika kye Ndiga eryatumibwa LUTALO. Ssekabaka n'amulagira okuba embuga ye. Okuva olwo ne liyitibwa Essiga lya Lutalo nga e Mbuga eri Katabuulwa -Buyijja.
Lyatandikawo ku mulembe gwa Ssekabaka Kimbugwe (1634-1644). Enkiiko z'eSsiga lino zituula buli Lwamukaaga olusembayo mu mwezi.
Alikulira ye GGUBYA JAMES BENNETT SSERUNKUUMA SERWABWE ey'atuuzibwa nga 25.5.2024. Ono nga ye Lutalo owe 12. Katikkiro w'alyo ye KYOBE FRANCIS era nga ye Omwami we Gombolola Musaale Buwama - Mawokota.
BBOSA Sebambulidde Lutalo yazaala abaana abalenzi 15 era n'abawala 19. Abalenzi yabasimbira emituba era n'ebaba nga b'ebaatandikawo emituba egiri mu Ssiga lye. Wabula EMITUBA 2 kugyo gy'aweebwa baana ba Ndalu baganda ba Sebambulidde Bbosa Lutalo 1, okuli NAMALUSU ne SSENGOMA nga bano baafuna emituba okuva ku jjjajaawe Ndalu.
Essiga lino liyina emituba ejiwerera ddala 17 ne wankubadde nga ejimu tejinazuulwa. Emituba gyonna, awamu ne Bbosa e Ddambwe eyali mu byafaayo:
Emituba gyonna 17 gye tusinziira ku lupapula lwa Emituba.